Psalms 25

Zabbuli ya Dawudi.

1 aEri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.

2 bNeesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 cDdala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.

4 dNjigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 eJjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 fTojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

8 g Mukama mulungi, era wa mazima,
noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
9 hAbawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
n’abayigiriza ekkubo lye.
10 iAmakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 jOlw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

12 kOmuntu wa ngeri ki atya Katonda?
Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 lObulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 mMikwano gya Mukama be bo abamugondera;
anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 nNtunuulira Mukama buli kiseera,
kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

16 oNkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 pObuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
mponya okweraliikirira kwange.
18 qTunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
onzigyeko ebibi byange byonna.
19 rLaba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
n’okunkyawa kwe bankyawamu!

20 sLabiriranga obulamu bwange, obamponye;
tondekanga mu buswavu,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 tAmazima n’obulongoofu bindabirirenga,
essubi lyange liri mu ggwe.

22 uNunula Isirayiri, Ayi Katonda,
omuwonye emitawaana gye gyonna.
Copyright information for LugEEEE